AKULIRA MAKERERE AYAGALA MIREMBE MU BAYIVU

Akakiiko akaateekeddwawo Amyuka Ssenkulu wa Makerere Kakensa John Ddumba Ssentamu okunonyereza n’okuwoma omutwe mu kugonjoola akanyoolabikya akali wakati w’omu ku basomesa mu Ssettendekero ono omukyala Dr Stella Nyanzi n’omu ku bakulira ettabi erimu mu Ssettendekero ono Kakensa Mahmood Mamdan leero lwekatandise emirimu gyako.

Amyuka Ssenkulu wa Ssettendekero ono Kakensa John Ddumba Ssentamu ategeezezza nti akakiiko kano kakulirwa David Bakibinga ow’omuttabi erisomesa ba nnamateeka nga basuubirwa okumukwasa ebinaava mu kunonyereza kwabwe ng’ennaku z’omwezi amakumi 22nd omwezi guno n’oluvannyuma olukiiko olukulira eby’okuwa emirimu ku Ssettendekero ono lukwasibwe bino.

Mu byebasuubirwa okunonyerezaako kuliko okumanya ensibuko y’obukuubagano obuliwo wakati wa bano n’okumanya obuzito bw’obutategeeragana bwabwe.Kinajjukirwa nti obukuubagano obuliwo wakati w’abano bwaviiriddeko omukyala ono Dr Stella Nyanzi okweyambulira abaana n’abazzukulu.

 

ENKUBA TERESE MAKUBO E NAKASEKE

Eby’entambula mu district ye Nakaseke bifafaaganyennyo kumpi kukira ntungo eyiika oluvannyuma lwa nnamutikwa w’enkuba ensangi zino okufudemba okukira omugobe mu ggulu.

Akulira ekitongole ky’eby’emirimu mu district eno Benjamin Makanga ategeezezza nti baali tebasobola kukola ku nguudo zonna okwetooloola district yonna olw’ensonga nti embalirira kwebazzenga batambulira ezzenga ekendeezebwa.

Benjamin agambye nti ku Bukadde 159 bwebaali basuubira okuva mu ministry y’eby’ensimbi baafunako amakumi 24 bwokka ezaali zitasobola kubaako kyamanyi kyonna zekikola.

Enguudo ezisinze okuwomoggoka kumpi nakubula kufuuka Nnombe za Walumbe kuliko;Mugenyi-Kalagi-Kalagala,Kalagala-Lwamahungu-Kyamaheno,Lwesirizi-Kinoni-Biduku,Nakaseke-Kijege-Kasambya n’oluva e Timuna okudda Lugogo olugatta district ye Nakaseke ku muliranwa waayo eye Luwero.

Omu ku bataka mu kitundu kino John Rwomushana omulunzi ategeezezza nti bukyanga nkuba etandika kutonnya eby’amaguzi byabwe okuli; amata,Amanda,byebakungula mu nnimiro n’ente zennyini tebikyatuusika mu butale nga n’ababisaabaza ebiro bino bbeeyi balinnyisizza olw’amakubo obutakyayitikamu.

 

ABADDE AKUKUSA AMASANGA AKWATIDDWA

Abakungu b’ekitongole ekyekebakkeba eddimu ly’okulwanyisa okusanyawo ebitonde by’omuttale n’eby’obugagga ebirala Lugaba byeyagonnomola ku ggwanga lino baliko omusajja abadde yeefudde kafulu mu kukukusa amasanga akwatiddwa.

Ssekamwa w’ekitongole kino ekimanyiddwa nga Natural Resources Conservation Network Labban Muhindo ategeezezza nti akwatiddwa ye Bwambale Julius Futi omutuuze we Karughe  mu ggombolola ye Karambi mu district ye Kasese ng’akwatiddwa oluvannyuma abakungu b’ebitongole bibiri okubadde n’aba Uganda Wild Life Authority.

Muhindo ategeezezza nti abakungu bano baatemezeddwako bataka nti omusajja ono alina amasanga agawerako gaabadde aterese ng’essaawa yonna abadde alindirira kugakuba bbeeyi ng’akwatiddwa kunsalo mu kitundu ekimanyiddwanga Bwera-Mpondwe.

Omukwate essaawa yonna waakusimbwa mu mbuga z’amateeka nga wetwogerera akuumirwa ku kitebe kya poliisi ye Kasese.

Ono akwatiddwa mu kiseera nga ne Kabwejungira YKM7 asuubirwa ku nkomerero y’omwezi guno okwegatta ku bakulubanne owa Kenya Uhuru Kenyatta n’owa Gabon mu kibuga Nairobi bookye amasanga agaweramu kkilo Omutwalo omulamba n’enkumi ebbiri ennambirira gebazze bakwata okuva mu mikono gy’abakuluppya ng’ono.


PHOTO: www.freeland.org

 

OW’ABAVUBUKA KU GGOMBOLOLA YE NSANGI MMOTOKA EMUTUZE

Abakiise ku Gombolola ye Nsangi mu Disitulikiti ye Wakiso bazuukukidde mu nnyike oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kwa mukiise munnaabwe mu lukiiko lw’eggombolola bwafiiridde mu Kabenje e Kyengera mmotoka mwabadde atambulira bwetomeraganye ne Ttiper y’omusenyu enkya ya leero.

Ono ategeerekesenga Hamid Mawejje abadde atemera mu myaka amakumi 28 y’abadde akiikirira abavubuka ku ggombolola ensangi abadde abeera e Nkokonjeru B ng’okufuna akabenje abadde atambulira mu motoka ey’ekika kya Harrier nnamba UAK  604U bwetomeraganye n’ekimotoka ky’omusenyu nnamba UAX  063K wakati wa Kyengera ne Busega nga waakava ku nkulungo ye Busega.

Mukiisemunne ku lukiiko lw’eggombolola eno Kaweesa Abdul ategeezezza nga bwe bagenda okutwala omulambo gw’omugenzi mu lukiiko okusiima byakoledde ekitundu n’oluvannyuma atwalibwe gyanaaziikibwa ku butaka bwabwe.


PHOTO: www.monitor.co.ug

POLIISI E LYANTONDE YEEYAMBIRA MU NSIKO

Kyewunyisa ate nga kituufu weewaawo nga tekikkirizika nti ekitebe kya poliisi ye Lyantonde abaserikale baakyo wetwogerera bwebagwamu ekya Wakayima beeteewululiza mu nsiko oluvannyuma lw’ab’ebyobulamu okuggalawo kaabuyonjo emu yokka gyebabadde nayo nga bagamba nti tekyasaana kukozesa oluvannyuma lw’okujjula atenga n’embeera mweri tewa manyi.

Wetwogerera ng’abaserikale abasoba mu makumi 30 n’ab’enju zaabwe okwo gattako abasibe be balina bonna tebakyalina bukyamiro kubanga bonna beeteewululizanga mu kaabuyonjo eno emu.

 

ABASUUBUZI E KASUBI BAKAAYIDDE WEBAKOLERA

Abasuubuzi abakakkalabiza mu katale ke Kasubi bekokkodde abakulembeze baabwe olw’okwekobaana n’ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya KCCA nebabatulugunya nga babasindiikiriza okuva mu katale kano atenga tebannabalaga webabazza.

Abasuubuzi bino babirangidde abakulembeze baabwe wakati mu lukiiko olukubiddwa omubaka w’ekitundu kino ekya Rubaga North Kasibante Moses ne Ssentebe w’eggombolola ye Rubaga Joyce Nnabbosa Ssebuggwaawo.

Ssebuggwawo ategeezezza abasuubuzi nti ekitongole kya KCCA yakiwa amagezi okusooka okwebuuza ku basuubuzi ku wa gyebandyagadde okusengulirwa wabula bano bakyefudde bannampulirazzibi.


PHOTO: tripwow.tripadvisor.com

JJAJJA W’EBISIYAGA CHRIS MUBIRU ATEEREDDWA

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu ggwanga Wilson Masalu Musene yejjeerezza musajjamukulu Chris Mubiru eyakulira ku ttiimu y’eggwanga emisango gy’abadde awerennemba nagyo egy’okwevuunika n’okusulika ennenge mwanamulenzi Emmanuel Nnyanzi gw’agambibwa okutuusaako obulabe mu mwaka gwa 2009.

Bwabadde awa  ensalawooye,Omulamuzi Masalu ategeezezza nti omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza teyeesigama ku mazima bweyali atyemulira Musajjamukulu ono Chris Mubiru ekibonerezo eky’emyaka ekkumi bwagambye nti akatambi akaalagwa tekaali ka mazima nti era tekaamalayo byonna.

Mubiru yakwatibwa mu mwaka gwa 2013 ku bigambibwa nti yavuunikanga ku baanabalenzi bonna abaamusalanga mu maaso mweyatwalira ne Emamnuel Nyanzi eyali atemera mu gy’obukulu 17 eyamutyabira akaalimu obuwuka.

Mubiru yali asaliddwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 10 n’okusasula kantanyi wa Bukadde bwa wano amakumi 50 eri mwanamulenzi ono gwabadde agambibwa okutuusaako ebisago eby’amanyi.


PHOTO: www.monitor.co.ug

MAMDAN ANYOMYE MUKAMAAWE JOHN DDUMBA SENTAMU OWA MAKERERE

Akulira ettabi lya Ssettendekero wa Makerere erisomesa eby’okunonyereza ku bulamu obwa bulijjo Kakensa Mahmood Mamdan asimbidde ekkuuli amyuka Ssenkulu wa Ssettendekero ono owa Makerere Kakensa John Dumba Ssentamu okuyingira obutereevu mu kugonjoola ensonga z’obukuubagano obuliwo mu ttabi lino wakati w’alikulira Mahmood Mamdan n’omukyala Dr Stella Nyanzi gweyatuusizza ne kukyokweyambulira abaana n’abazzukulu emisanattuku ng’ensi yonna eraba.

Mu kiwandiiko kyafulumizza enkya ya leero Kakensa Mamdan ategeezezza nti Amyuka Ssenkulu wa Ssettendekero Kakensa John Dumba Ssentamu tasobola kusala mazima mu nsonga ezikwata ku Dr Nnyanzi gwalinako n’oluganda anti baalugera nti ‘Enkima tesala gwa Kibira’.

Mamdan ategeezezza nti teyandiganye kukwatagana na kakiiko kaatereddwawo Kakensa John Dumba Ssentamu wabula kyatakkanya nakyo ky’eky’akakiiko kano kumaliriza kunonyereza kamuddize byekanaaba kazudde mbu olwo abatuuze bombi ye ne Nyanzi basalawo eggoye.

Mamdan era agambye nti Kakensa John Ddumba Ssentamu talina mbavu wadde enkizi eyinza okusala amazima nti ate n’akakiiko keyataddewo takalinaamu kigendererwa kirala kyonna okuggyako okulwanirira omukyala Dr Stella Nnyanzi alabenga atereera bulungi ku mulimu.

Mamdan agamba nti oba ono ayagalannyo Nyanzi ye gwatakyetaaga amufunire ettabi eddala mu Ssettendekero gyaba akolera.Kinajjukirwa nti Dr Stella Nyanzi olunaku lw’eggulo yamazeeko eggwanga ebyewungula bweyeeyambudde n’asigala mu kaamunda kokka ng’awakanya mukamaawe Maddan okuggalawo woofiisiye.

 

BESIGYE AKWATIDDWA E KABALE

Poliisi e Kabale ewandagazza amasasi n’okweyambisa omukka ogubalagala mu kugezaako ogumbulula abawagizi ba Ret Col Dr Kiiza Besigye ababadde bamukungaaniddeko mu kitundu kye Lwamukyukyu n’oluvannyuma n’emukwata n’emuggya ku bawagizibe eggulo lya leero.

Besigye abadde yakedde Kabale awamu ne banne bwebazze bavunaanibwa ogw’okulumya abaserikale ba poliisi abana n’okwonoona mmotoka zaabwe bwebaali bakubye olukungaana mu Kabale mu mwaka gwa 2012.

Kubano kubaddeko Lord Mayor wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago,Omubaka omulonde owa Kawempe ey’obukiikaddyo Munyagwa Mubarrack Sserunga,akulira ekiwayi ky’abakyala mu FDC Ingrid Turinawe n’abalala.

Ono akwatiddwa mu kitundu kya Lwamukyukyu mu ggombolola ye Lukiga mu district ye Kabale nga wammaggwe wabaddewo vvaawompitewo wkati w’abawagizibe ne poliisi ekigiviiriddeko okuwandagaza amasasi n’okubasiwamu omukka ogubalagala.

Gyo emisango egibadde gibatutte embuga gyizziddwa ng’ennaku z’omwezi 6th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga lwebasuubirwa okudda embuga.

 

ABALWADDE BAKYATUBIRIDDE E MULAGO

Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA kitegeezezza nti tekinaba kyeteefuteefu kuweeebwa balwadde abasuubirwa okuva mu ddwaliro ekkulu erye Mulago olw’emirimu gy’okuliddaabiriza egigenda mu maaso bajjanjabirwe mu malwaliro gaabwe erye Kawempe nerinnaalyo erye Kiruddu.

Akulira eby’obulamu mu kitongole kino Dr David Serukka ategeezezza nti nabo bakyalina emirimu gy’okumaliriza okuddaabiriza gyebakyamaliriza ku malwaliro gano gombi okutuusa mu mwezi ogujja.Ono ategeezezza nti wabula bakola butassa mukka okulaba nga bamaliriza mangu badduukirire eddwaliro lye Mulago.


PHOTO: www.foodqualitynews.com