LUKULULANA ESSE OMUSERIKALE

Omuserikale wa poliisi afiiriddewo mbulaga n’abalala babiri nebavaawo n’ebisago eby’amanyi mu kabenje akagudde ku nkulungo eyabbulwamu erya Gaddafi ku luguudo olwakazibwako Kyabazinga mu kibuga Jinja nga mmotoka Lukululana Number ZC 9669 y’etomedde abantu ababadde batambulira ku pikipiki Number UDV 316V.Afudde ye Corporal Stella Angupalu n’abalutonze kubaddeko;Private Joseph Musisi ne Richard Kutosi.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: WordPress.com

DR STELLA NYANZI ATEEREDDWA

Omulamuzi James Eremye Mawanda owa kkooti ya Buganda Road wano mu Kampala ateewuluzza omukyala atasiba zikweya Dr Stella Nyanzi awerennemba n’egy’okuyita ku mikutu emiyungabantu n’amala amalako abantu abamu egya Nakakaawa nga ne Kabwejungira tamutalizza.

Dr Nyanzi ateereddwa ku kakalu ka kooti ka Bukadde 10 obw’obutaliiwo nga n’abamweyimiridde abataano balagiddwa buli omu okusasula akakalu ka Bukadde kkumi kkumi era obw’obutaliiwo.Omulamuzi Eremye Mawanda alagidde Dr Stella Nyanzi n’abamweyimiridde nti tebasaanidde kwogera kana na kataano ka musango guno mu mawulire.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

 

BATEGESE OKUDDUUKIRIRA MAKERERE N’OBUWUMBI

Bannamakerere abalumirirwa Ssettendekero ono ddaaki beekozeemu omulimu oguteekateeka emisinde emibunabyalo mwebagenderedde okukunganyiza ensimbi Obuwumbi 15 bwebaagala okweyambisa mu kuzimba Makerere University Students’ Centre.

Bano baagala ekifo kino okubeeramu kalonda yenna okwo kwossa ekisenge galikwoleka ekirituuzanga abantu abasukka mu nkumi ebbiri.Dr Nakayiwa Florence ow’eby’enteekateeka ategeezezza nti nteekateeka eno etuumiddwa ‘’Run for your campus’’ yaakubeerawo nga 14th omwezi guno.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: Makerere University

EYALOGA KABAFUNZAKI TANNASSA MBUGO

Abadde Minister omubeezi ow’ensonga z’abakozi gyebuvuddeko eyawummuzibwamu mukamaawe Herbert Kabafunzaki byandyongera okumwonoonekera oluvannyuma lw’Omusigansimbi omulala okuvaayo ng’amuvunaana okumusiba okumala essaawa ttaano nnambirira ng’amulanga okugaana okumuwa ekyojamumiro kya Doola za America 5000 wano ku kitebe kya poliisi y’amasekkati ga Kampala.

Ekitebe kya South Korea kiwandiikidde omuwandiisi w’enkalakkalira mu ministry y’ensonga z’amawanga amalala okunonyereza ku bigambibwa nti munnansi waabwe Woo Junghoon yasibwa Kabafunzaki n’alagira obutamuta okutuusa ng’amuwadde ekyojamumiro.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: BusinessGuideAfrica

ABAZADDE BAKUBIRIZIDDWA OKUGEMESA ABAANA

Abazadde bakubiriziddwa okutuukiriza obuvunanyizibwa bwonna obw’ennyingo y’okutemera abaana baabwe omusingi gw’obulamu obulungi.

Bwayogeddeko naffe,Ssekamwa waministry y’eby’obulamu Vivian Nakaliika ategeezezza nti mu ssabbiiti eno ey’eby’okugemesa abaana okwetooloola ensi yonna abazadde basaanidde okugenda ku malwaliro gonna okwetooloola eggwanga bagemese abaana baabwe ebirwadde binnamutta newankubaddenga enteekateeka enkulu zatwaliddwa mu ttundutundu lya Busoga.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: ruralreporters.com

ABATAAFUNYE BUTIMBA MINISTRY EBAZZEEMU

Ministry y’eby’obulamu esambazze ebibadde byogerwa abataka mu district z’ettundutundu lya Karamoja ne Teso nti abamu ku batuuze baabwe abeewandiisa okufuna obutimba bw’ensiri tebaabufunye mu ggandaalo eriwedde ng’enteekateeka ya ministry bweyali.

Ssekamwa wa ministry eno Vivian Nakaliika ategeezezza nti abatuuze bonna abeewandiisa baafunye obutimba bwabwe ng’abagamba nti tebaafunye kyamazima tebeewandiisa.Kino kiddiridde abamu ku bataka mu district ya Pader okuvaayo nebavumirira ministry eno obutabategeerezaawo mu budde ku nnaku zebanaaweerwamu obutimba.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: NRS International

AGENZE OKULYA SSENTE AFIIRIDDE MU POOL

Poliisi e Masindi etandise okunonyereza ku nfa y’omusajja nneekoleragyange Charles Sseruganda agambibwa okufiira mu kidiba ekizungu ekiwugirwamu eky’ekifo ekisanyukirwamu eruuyi eyo ekya Country Inn mu kibuga Masindi.

Aduumira poliisi e Masindi JohnBosco Bakashaba ategeezezza nti batandise okunonyereza ku kiyinza okuba nga kye kyaviiriddeko omusajja ono abadde nnannyini Charles Enterprises okufiira mu swimming pool eyo mweyabbide nga waliwo n’abalala abawuzi musanvu.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: Red Pepper

EKITONGOLE EKIRAMUZI LYE TTEREKERO LY’OBULYAKE

Omukago gw’ebibiina by’obwannakyewa ebirwanyisa obulyake n’obukenuzi nga bali wamu n’ekibiina ekitaba bannamateeka ekya Uganda Law Society basabye Gov’t eyongeze emisaala gy’abakungu mu kitongole ekiramuzi n’okwongeza ku mutemwa gw’embalirira ogubaweebwa kyongere okubagondeza ku mirimu gyabwe.

Cissy Kagaba akulira omukago gw’ebibiina bino ategeezezza nti enguzi efumbekedde mu kitongole kino tekireseemu mpeereza nnungamu naye nga nnabe avudde ku nsako zaabwe kweveera.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

POLIISI EWERA KWAMBALAGANA NA FDC ABAAGALA OKULEMESA OKULAYIRA

Poliisi eyungudde basajja baayo okwetooloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti bannakibiina kya FDC bateekateeka okulemesa okulayira kw’omukulembeze w’eggwanga ng’ennaku z’omwezi 12th omwezi guno ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Amyuka Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agambye nti nga poliisi ssibaakuganya nteekateeka eno kugenda mu maaso n’okusingira ddala abo abateekateeka okuva e Kabarole,Isingiro,Ntungamo,Kisoro,ne  Kasese abateekateeka okujja e Kampala.


PHOTO: www.observer.ug

JACOB OULANYA ATONGOZZA KAKUYEGE AMUTUUSA KU BWA SIPIIKA

Omubaka wa Mityana North mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Godfrey Kiwanda era ssentebe w’ababaka abaganda atongozza akakiiko k’ababaka banne amakumi 25 abagenda okuwenjeza omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga Jacob Oulanya akalulu akanaamutuusa ku bukubiriza bw’olukiiko luno.

Bano okusinga kuliko ababaka abapya abaakalondebwa nga baakutandikira mu kumatiza kabondo k’ababaka bannakibiina kya NRM,baddeko bannabibiina by’ebyobufuzi ebirala olwo balyoke balabe abajja ku bwannamunigina.

Ekibinja kino kiriko ababaka abakiikirira abavubuka okuva mu masekkati g’eggwanga,ow’obukiikakkono n’ow’obugwanjuba.