ABADDE AWAMBA MAGOGO MUKWATE

Poliisi ya Kampalamukadde ekutte muunabyamizannyo Dan Walusimbi bwabadde agezaako okwetyebeka mu ntebe ya ssenkaggale w’ekibiina ky’eby’emizannyo mu ggwanga ekya FUFA.

Tutegeezeddwa nti Walusimbi agenze ku kitebe kya FUFA wano e Mengo atuukirize ekirootokye eky’obwa Ssenkaggale w’ekibiina kino ng’agamba nti ye mutuufu asaanidde okutuula mu woofiisi omutudde Moses Magogo.

Aduumira poliisi ya Kampalamukadde Charles Nsaba akakasizza okukwatibwa kwa Walusimbi.Kinajjukirwa nti poliisi yakedde kuyiwa abasajja baayo ku kitebe kino oluvannyuma lw’okubagulizibwako nti Walusimbi abadde ajja kweddiza woofiisi ya Magogo.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: Red Pepper

DHAIRA ABBUDDWAMU WAADA YA KOOKOLO

Minister omubeezi ow’eby’emizannyo Charles Bakkabulindi ategeezezza nti eggwanga lifiiriddwa omuzannyi abadde ow’empisa n’ekitone byabadde yeeyambisa okuweereza eggwangalye.

Bwayogeddeko eri abakungubazi abakungaanidde mu kkanisa ya All Saints wano e Nakasero,minister Bakkabulindi agambye nti eggwanga ligenda kujjukiranga omuzannyi Abel Dhaira olw’obukozibwe n’obuweerezabwe obuteerekerera mu kisaawe ky’emizannyo era mwasinzidde n’asitula bendera y’eggwanga lino.

Ate bo bakwanobe basinzidde mu kusaba kuno nebalangirira enteekateeka y’okulwanyisa ekirwadde kya Kookolo.

Abadde Manager era mukwano gwa Abel Dhaira amanyiddwanga Siras Wekia ategeezezza nti baakuteekawo ekitongole ekimanyiddwanga Abel Dhaira Foundation kimanyise abantu awamu n’okulwanyisa ekirwadde kino ekya kookolo ekimaze abalungi kati abawerera ddala.

Mu kusaba kwekumu n’abakulira eddwaliro ekkulu e Walukuba mwebategeerezza nti baliko ekibangirizi kyebataddewo kizimbwemu waada egenda okutuumwa Abel Dhaira enajjanjabirwamu ekiradde kya kookolo.

Dhaira yafiira mu ggwanga lya Iceland ng’ennaku z’omwezi amakumi 27th omwezi oguwedde ogw’okusatu ng’ekirwadde kya kookolo ow’omubyenda kyekyamunyoola ensingo.

Eggulo lya leero omubirigwe gwakutwalibwa mu maka gaabwe e Walukuba mu Jinja gyagenda okugalamizibwa mu nnyumbaye ey’olubeerera ku lw’okusatu lwa ssabbiiti eno.


PHOTO: www.chimpreports.com

OMUSUJJA GUYIMIRIZZA EBY’EMIZANNYO

Ekirwadde ky’omusujja ogumanyiddwa nga Rift Valley Fever ekyalumbe abataka mu Kabale kisannyalazza eby’emizannyo mu kitundu ng’ekikopo ky’omuzannyo gwa Golf eky’amazuukira ga Kristo ekibadde kitegekeddwa wakati w’ennaku z’omwezi amakumi 25th n’amakumi 26th guno ogwa Mugulansio mwetuli kiyimiriziddwa ekyosi kimale okuyita.

Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’omuzannyo guno Edward Kabukyu ategeezezza nti kino bakituuseeko oluvannyuma lw’okwebuuza ku bakulembeze b’ekitundu n’ababadde babateeseemu ensimbi.Kabukyu agambye nti babadde tebalina bwebayinza kugenda mu maaso na muzannyo guno ng’ekitundu kyazindiddwa nnawookeera w’ekirwadde kino.

Kinajjukirwa nti abantu babiri eggwanga lyategeezebwa abakungu ba ministry y’eby’obulamu nti ekirwadde kyabanyooladda ensingo nga n’abalala gyebuvuddeko baggyibwako omusaayi n’ekigendererwa ekyetegereza obanga ddala nabo baakwatibwa ekirwadde kino.

Omusujja guno gutambulira mu ngeri za njawulo nga wabula bannayuganda bagambibwa okubeera nga baguggya ku bisolo ebirina akawuka akagutambuza ssinga babikwatako oba okulya ennyama yaabyo ssinakindi n’okubinywamu amata.

 

DDAAKI SAVIO KABUGO AKOMYEWO

Omuzibizi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ne URA FC kyaddaaki akomyewo. Savio Kabugo asangiddwa ng’atendekebwa mu ggiimu ya Wooteeri ya Africana ategeezezza nti yalongoosebwa bulungi n’awona era ng’ekyasinga okumuyamba kwekugoberera abasawo byonna byebaamugambanga.

Ono agenze mu maaso n’ategeeza nti  asiimyennyo okudda ate n’aba ng’akyalina obulamu bweyeebalizza katonda era n’agamba nti  mwetegefu okuwaayo kyonna ekyetaagisa mu kudduukirira Kiraabuye (club) okuwangula ekikopo kya Azam Uganda premier League 2015/2016.

Savio agenda funa okuvuganya ku nnamba gyazannya ne Kasagga Richard,Sam Ssenkoomi,Jimmy Kulaba,Deo Othieno ne Bob Kasozi.Kinajjukirwa nti omuzibizi wa tiimu y’egwanga abadde amaze omwaka mulamba nga tazannya mupiira oluvannyuma lw’okulwalira ku ttiimu y’eggwanga ng’eri mu mpaka ez’okusunsulamu ez’ekikopo kya Afrika ekya 2015.

 

ABA UGANDA BASSIBWAKO ENVUMBO MU GYA CHAN

Nga Uganda ezannya omupiira gwayo ogusooka ne Mali mu mpaka za CHAN eziyindira mu gwanga lya Rwanda ,ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu Afrika kikasiza nga Ivan Ntege ne Hassan Wasswa Dazo bwebatagenda kuzannya mupiira guno.

Ivan Ntege yawezezza kaadi ezakyenvu ezimukugira okuzannya omupiira oguddako mu mpaka zino ate ye Hassan Wasswa Dazo yafuna kaadi emyufu nga Uganda ezannya ne Sudan mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu CHAN 2016 e Nakivubo mu luzannya olusooka. Omutendesi wa Cranes Micho Multin agumuzza egwanga ,bwagambye nti abazannyi abali munkambi basobola bulungi okubikirira ebituli bino.

Micho amaaso agatunuulizza abazannyi babiri okuli Bernad Muwanga ne Timothy Awanyi nga kubano kwagenda okulonda omusika wa Ivan Ntege mu mupiira gwa Mali ogugenda okuzannyibwa akawungeezi ka leero mukibugi Gishenyi. Tiimu nga bwesuubirwa okutandika Leero: Ismail Watenga,Dennis Okoti,Ochaya Joseph,Kasagga Richard,Timothy Awanyi,Benard Muwanga,Kezron Kizito,Mutyaba Muzamir,Okhuti Ceasar,Miya Farouk,Ssekisambu Erisa.

ABAZANNYI ABANAAKIIKIRIRA UGANDA MU MPAKA ZA CHAN BAFULUMIZIDDWA

Abazannyi amakumi 23 n’abakungu 9 bebagenda okukiirira Uganda mu mpaka za Orange African Nations Championship ( CHAN). Hamid Juma ono ng’ali ku kakiiko akakulira eby’ekikugu mu FUFA y’agenda okukulemberamu ekibinja ky’abantu amakumi 32 .

Ekibinja ky’abantu bano kigenda kusimbula okugenda e Rwanda ku lw’omukaaga lwa ssabbiiti eno Ssaawa Kkumi ez’akawungeezi. Miya Farouk y’agenda okuduumira abazannyi nga waakuyambibwako Joseph Ochaya ne Robert Ssentongo. Uganda eri mu kibinja D omuli Zimbabwe ,Zambia ne Mali era nga bano baakuzannyira emipiira gy’omukibinja mu kisaawe ekiri ku lubalama lw’ennyanja ekya Umuganda mu kibuga Rubavu. Abazannyi 23 aba Uganda Cranes n’ennamba zebaneetimba ku mijoozi gyabwe.

Mathias Kigonya (1) GK Denis Okot Oola (2) Nsubuga Joseph (3) Jjuuko Richard Kasagga (4) Bernard Muwanga (5) Kizito Keziron (6) Ochaya Benson Joseph (7) Muzamiru Mutyaba (8) Sentongo Robert (9) Miya Faruku (10) Erisa Ssekisambu (11) Hassan Wasswa (12) Kalanda Frank (13) Serunkuuma Geoffrey (14) Ceaser Samson Okhuti (15) Ntege Ivan (16) Isaac Muleme (17) Isima Bin Abdul Rashid Watenga (18) GK Awany Timothy Denis (19) Alitho James (20) GK Kirya Ambrose (21) Kizza Martin (22) Olaki Ronald Francis (23) Abakungu abagenda okutambula ne ttiimu;anaakulira ekibinja: Juma Hamid Omutendesi: Milutin Sredojevic Amyuka Omutendesi: Moses Basena Omutendesi w’abakwasi ba Goolo :Fred Kajoba Musawo: Dr. Ronald Kisolo Musawo: Ivan Ssewanyana Mukwasaganya: Joseph Kasana Akulira eby’amawulire: Hussein Ahmed Marsha Ayambako Mutendesi : Saidi Lugolobi

EYASINGISIBWA OGW’OKUVAABIRA ENSIMBI ZA NAMBOOLE BIMWONOONEKEDDE

Omulamuzi Lawrence Gidudu owa kkooti ewozesa abakenuzi n’abalyake mu ggwanga agobye okwemulugunya kweyali omubalirizi w’ebitabo mu kisaawe kya Mandela National Stadium Joseline Asiimwe mweyali awakanyiza ekibonerezo eky’okusibwa okumala emyaka ebiri oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okubulankanya ensimbi.

Omulamuzi Gidudu era ategeezezza nti okusalawo kw’omulamuzi Alumu eyasooka tekwalimu nsobi yonna ku kibonerezo na buli kimu kyeyasalawo.

Ono era ategeezezza nti ono ateekeddwa n’okusasula obukadde 104 bweyali yasasulwa abakungu b’ekibiina kya NRM mu mwaka gwa 2010 olwa ttabamiruka gwebaali bateekateeka okuteekayo.

Kinajjukirwa nti omulamuzi wa kkooti etaganjula egy’obukenuzi n’obulyake Agnes Alumu ng’ennaku z’omwezi amakumi 25th ogw’omwenda omwaka 2014 yasalira Asimwe emyaka ebiri agyebake mu mbuzeekogga oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okuvaabira obukadde 104.

UGANDA EZANNYA NE ETHIOPIA

Ddaaki Uganda Cranes etuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo mu kikopo ekiwakanirwa amawanga ag’amasekkati n’obuvanjuba bwa Ssemazinga w’Africa (CECAFA) era yaakuzannya ne ttiimu ya Ethiopia abategesi b’empaka zino omwaka guno.

Kinajjukirwa nti Uganda yawangudde Malawi bweyabakubye ggoolo bbiri bwereere(2-0).Ate ababadde bannantameggwa b’empaka zino aba Kenya bawanduddwamu Rwanda mu kakodyo ak’okusimulagana peneti oluvannyuma lw’omupiira okugwa amaliri okutuuka ku ddakiika ey’ekyenda.Enteekateeka y’emipiira nga bwegigenda okuzannyibwa mu luzannya olw’akamalirizo olwa leero ku lw’okuna eraga nti Uganda yaakwambalagana ne Ethiopia ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana (Uganda vs Ethiopia 6:30 ez’emisana) ate Sudan eyambalagane ne Rwanda ku ssaawa ssatu n’eddakiika amakumi 45 ez’emisana (Sudan vs Rwanda  9:45 ezemisana)

FIFA EFULUMIZZA OLUKALALA LWABAGENDA OKUSALA EGYA 2016

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira munsi yonna ekya FIFA kiweerezza FUFA olukalala lwabagenda okusala emipiira gya 2016 amakumi abiri mu babiri nga bano be bagenda okulamula omupiira mumkwaka 2016 nga balina akabonero ka FIFA.

FUFA yabadde eweerezza olukalala lw’abantu amakumi 25 wabula FIFA n’ekkirizaako abiri mu babiri bokka(22).Ku bano kuliko abaami; nga Miiro Brian Nsubuga, Ssali Mashood, Muhabi Alex, Batte Denis ne Sabilla Chelangat Ali.

Abamyuka baabano kuliko;Ssonko Mark, Balikoowa Musa Ngobi, Okello Lee, Kayondo Samuel, Katenya Ronald ne Bugembe Hussein nga bano balamuzi ba muzannyo gwa Beach Soccer: Mugerwa Shafic, Kintu Ivan Bayige ne Ssenteza Muhammad.Abakyala kuliko;Ssemambo Aisha Nabikko, Namubiru Irene ne Akoyi Anna ng’abamyuka baabwe kuliko;Nakitto Marex Nkumbi, Nagaddya Catherine Cynthia, Mutonyi Jane,Nantabo Lydia Wanyama ne Atuhaire Docus.

TIIMU YA KCCA FC EYOGEREZA VICENT KAYIZZI .

KCCA FC eri mu kaweefube ow’okunoonya omusika wa Micheal Birungi abadde  omuwuwuttanyi waayo  gweyaguzizza Al-Khartoum Watani eye Sudan ku ndagaano ya myaka ebiri.

Vicent Kayizzi atemera mu gy’obukulu amakumi 31, eyatandikira omupiira  mu KCCA FC  mu mwaka 2003 azannyira mu Express FC eri mu Liigi ya Azam Uganda Premier League.

Omutendesi Sam Simbwa ng’ono ye mumyuka w’omutendesi wa KCCA FC agamba nti “Kayizzi muzannyi mulungi era olw’obumanyirivu bwalina ajja kuyamba nnyo club okuwangula ekikopo kya liigi sizoni eno”.