ABAANA ABABADDE BAWAMBIDDWA BALABISE

Poliisi mu ttundutundu lya Savanna ekakasizza okulabwa kw’abaana ababiri ababadde bawambiddwa okuva ku bazadde baabwe e Bukuuku ekisangibwa ku nsalo ya district ye Nakaseke ne Luweero.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lino Paul Kangavve ategeezezza nti wabula bakyawenja omusajja nnannyini ssimu eyabadde ekubira bazadde baabwe nga basabwa Ssente za Kantanyi ate abaana.Bano kuliko abadde atemera mu myaka 16 n’ow’emyaka Omusanvu.

Ku nsonga z’abasibe amakumi 46 abaayooleddwa jjo mu bbinu eryabaddewo nga bannaLuweero baaniriza Omubaka wa Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Robert Kyagulanyi bweyabadde ayita mu bitundu bya Luweero.Kangavve agamba nti batandise okubasunsulamu balabe abazzi b’emisango kayingo bavunaanwe.

 

KAYIHURA ATEEREDDWA,TAAFULUMENGA KAMPALA NA WAKISO

Bya Charles Kizindo

Essanyu kata litte banywanyi b’eyaliko Ssaabapoliisi wa kuno Gen Kale Kayihura bw’akkiriziddwa okweyimirirwa mu kkooti y’amagye ekulirwa Lt Gen Andrew Gutti.Bwabadde amukkiriza okweyimirirwa,Omulamuzi Gutti ateereddewo Kayihura obukwakkulizo obuwera okuli obutakkirizibwa kufuluma district eya Kampala ne Wakiso ssaako okufulumanga eggwanga nga tafunye lukusa,okugendanga ku kkooti eno buli Bbalaza esooka mu mwezi nobulala.Kayihura ateereddwa ku kakalu ka Bukadde bwa wano kkumi obutabadde bwa buliwo na buli amweyimiridde Obukadde Butaano Butaano era obutabadde bwa buliwo.

Gyebuvuddeko Kkooti eno yakubyeko n’okubooga n’ebooga banywanyi,ab’oluganda,abako n’ab’emikwano gya Gen Kale Kayihura bwebazze okubaawo ng’abajulizi ng’omuntu waabwe asaba okweyimirirwa.Abamweyimiridde abasatu kuliko;Maj Gen James Mugira,Maj Gen Steven Kavuma n’omukyala Hon Rosemary Tumusiime nga bwe baamalirizza okuwaayo ebibakwatako Ssentebe wa kkooti eno Lt Gen Andrew Gutti yagiyimirizzaamu okumala essaawa emu ye ne banne basooke beegeyeemu.

Bannamateeka ba Kayihura nga bakulembeddwamu Peter Kabatsi mu nsonga ze batadde embuga mu kusabira omuntu waabwe okukkirizibwa okweyimirirwa mulimu eky’okukulirira mu myaka 62 gyalina,ey’obulamubwe obwetaaga omusawo nti ate ye ng’omuntu abadde Ssaabapoliisi okumala emyaka 13 tasobola kubuuka makkyo biragiro bya kkooti okwo ssaako okuba Ssemaka amanyiddwa obulungi gyabeera mu ggombolola ye Makindye ate alina obutaka e Nyakabande mu Kisoro.Kayihura yaggulwako emisango esatu okwali okulagajjalira eby’okulwanyisa ebyali mu mikonogye,okuwa abantu ba bulijjo emmundu mu ngeri emenya amateeka ssaako okuwamba,okubuzaawo n’okusindiikiriza bannansi ba Rwanda abaawangalira wano.

BOBI WINE NE BANNE BATEEREDDWA,KIRI BULALA E GULU

Essanyu likize okuttira abawagizi b’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu ne Kassiano wadri wabweru wa kkooti enkulu e Gulu oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okuteebwa kwabwe.

Babaka bannaabwe abalala okuli Paul Mwiru n’abalala bonna bakkiriziddwa okweyimirirwa omulamuzi wa kkooti enkulu e Gulu. Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Abdul Katuntu basinze nnyo kwesigamya kusaba kwabwe ku mbeera y’obulamu bw’abasibe,abamu kubo abakulu mu myaka ssaako ebbeetu eribaweebwa Ssemateeka.

Bwebabadde bakkirizibwa okweyimirirwa omulamuzi akakasizza nti kituufu abantu be baleese okubeeyimirira bannayuganda abamanyiddwa obulungi era abasuubirwa obutalemererwa kubazza mbuga ssinga baba beetaagibwa.Oluuyi oluwaabi lusoose kusaba mulamuzi bannabyabufuzi bano abagaane okuddamu okwenyigira mu kutambula okulaga obutali bumativu bwabwe n’ebirala byonna ebiyinza okuyitwamu okukuma omuliro mu bantu.

Mu bateereeddwa Kassiano Wadri engeri gyali mubaka wa Arua abadde asuuliddwa emisanvu obutadda mu kitundu ky’akiikirira olw’okwewala okwongera okuseesa mu butabanguko wabula Omulamuzi wa kkooti eyo amulagidde buli lwanaabanga ayagala okutuukako mu balonzibe asookenga kufuna lukusa kuva mbuga okumala ebbanga lya myezi esatu.Bano balagiddwa basse emikono ku bukalu bwa Bukadde Butaano Butaano obutali bwa buliwo n’ababeeyimiridde Obukadde kkumi kkumi era obutabadde bwa buliwo.

Ye eyaliko omuduumizi w’eggye ly’eggwanga erya UPDF Gen Mugisha Muntu y’omu ku baggyeeyo obwenyi okweyimirira Omubaka wa Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Robert Kyagulanyi abadde amaze akaseera mu mikono gy’ab’eby’okwerinda ne mu kkomera.

DR SHEILAH NDYANABANGI ASABIDDWA E NAKASERO

Enteekateeka z’okukusabira omwoyo gw’abadde akulira ekitongole ekirwanyisa ebirwadde by’emitwe ebiva ku kwekeserera ebiragalalagala Dr Sheilah Ndyanabangi mungu gweyajjululira wano mu ddwaliro ekkulu e Mulago zigenda bukwakku mu kkanisa ya All Saints wano e Nakasero n’oluvannyuma omubirigwe gugenda kutwalibwa e Kabale ku kyalo Kasheregyenyi gyagenda okugalamizibwa mu nnyumbaye ey’olubeerera ku ssaawa mukaaga ez’omuttundtu olunaku lw’enkya.

Ndyanabangi yafa lwamukaaga ng’ekimu ku bika bya kookolo ow’omu Nnabaana kye kyamunnyudde egy’ensi eno ekirwadde kyazzenga alwanyisa buli lukya n’okulwanirira bannayuganda baleme kukifuna.Bannamawulire abasaka ag’eby’obulamu wano mu ggwanga bagamba nti banaalwawo okufuna omusawo omukugu mu kisaawe ky’okulwanyisa ebiragalalagala nga Sheilah bwabadde abanguyira.

AMAGYE GEJJEEREZZA BOBI WINE,POLIISI EMUKUTTE

Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine aggyiddwako emisango gyonna gyabadde avunaanibwa mu kkooti y’amagye ebadde ekulembeddwamu Ssentebe waayo Gen Andrew Gutti.Ono ng’akiikirirwa bannamateekaabe abakulembeddwamu Omubaka Medard Lubega Sseggona baasbye kkooti eno emuggyeko emisango gino engeri gyewatabadde bukakafu bumala ng’ate ssi muserikale nga kale okumusimba mu maaso ga kkooti y’amagye kibadde kirinnyirira ddemberye.

Kyagulanyi bw’abadde tannaddamu kukwatibwa tutegeezeddwa nti bannaKampala n’okusingira ddala ewa Kisekka bajaganyizza byansusso oluvannyuma lw’amawulire ga mukwano gwabwe okuggyibwako emisango mu kkooti y’amagye okuwulirwa.Byo eby’okwerinda mu Gulu n’emiriraano biri ggulugulu nga poliisi n’amagye byatazaamye enguudo ezisinga mu kaweefube eyagendereddwamu okutebenkeza eddembe ssinga wabaddewo akagagambulabbwa konna akabalukawo.

BESIGYE AVUDDEYO KU BABAKA BAKUBE

Eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Ret Col Dr Kiiza Besigye asizidde ku kitebe kyabwe ab’oluuyi oluwabula Gov’t ku luguudo lwa Katonga wano mu Kampala n’ategeeza nti aliko naye ekibinja kya bannamateeka ky’alonze kyegatte ku bannamateeka abaaweerezeddwa e Gulu bakwataganire wamu mu kaweefube w’okwanguyaako ensonga z’okuyimbula ababaka abaasibiddwa n’abatali mu mbeera nnungi mu nsonga z’obulamu bajjanjabwe ng’ekibinja kino kikulemberwa Erias Lukwago.Besigye alaze obwennyavu eri embeera egenda mu maaso mu ggwanga n’ategeeza nti kiragira ddala nti obufuzi obugoberera amateeka tebukyaliwo.

BABIRI KU BABAKA ABAKWATE BALI BUBI

Omubaka wa Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga Robert Kyagulanyi Bobi Wine ne munne owa Mityana Francis Zaake embeera yaabwe tewoomya Nnakabululu oluvannyuma lw’okukubwa nebalekwa ne mu kkubiro.Mubaka munnaabwe era omu ku bannamateeka baabwe Medard Lubega asinzidde Gulu ku kkooti gyebagenze okulaba nga bannaabwe basimbwa mu mbuga z’amateeka n’atutegeeza nti ababaka abalala bonna abaakwatibwa bakkiriziddwa okubalaba ng’oggyeeko ababiri abo.Ono agamba nti Zaake ateeberezebwa kuba ng’akuumirwa Makindye ate Robert Kyagulanyi ajjanjabirwa Gulu.

Bano nga bakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona ne Asuman Basalirwa beerayiridde obutava Gulu okutuusa ng’abantu baabwe basimbiddwa mu mbuga z’amateeka. Medard Lubega gwetwogeddeko naye mu Kalasamayanzi akayise ategeezezza ekibatutte e Gulu kulaba nga bannaabwe banunulwa n’okwetegereza emisango gyennyini egibagguddwako.

OMUSOMESA LY’EDDAGALA LY’ABATULUGUNYIZIBWA EKA

Abasomesa basabiddwa obutalekereranga baana batawanyizibwa mu maka naabo abatulugunyizibwa nga tebabayambyeko kugonjoola bibalemesa kuyiga.

Juliet Sseggujja omusomesa akola ku nsonga z’abaana mu limu ku matabi ga Kids Club Kampala ekimu ku bitongole by’obwannakyewa ekibudaabuda abaana abayita mu kugezesebwa erya Katanga Resource Center agamba nti omwana atulugunyizibwa eka gyava aba asigazizza musomesawe yekka okumujuna nti era ssinga alekererwa yeemu ku nsonga ezibaviirako okudduka mu maka ga bazadde baabwe nga mpaawo abajuna.

Juliet Sseggujja agamba nti engeri abasomesa gyebatendekebwa n’okubudaabuda abasobeddwa ekimanyiddwa nga Guidence and counseling bwebalaba embeera eno mu bamu ku baana be basomesa bababudaabuda abaana nebababuulira emberebezi weeva era nebatandikiraawo.Kinajjukirwa nti alipoota y’ekitongole ky’ensonga z’abaana ekya UNICEF yalaga nti abaana basatu ku baana bana mu ggwanga wano baali batulugunyiziddwako mu ngeri emu oba endala.

BRYAN WHITE ATUUYANA BWE ZIKALA

Brian Kirumira amanyiddwa nga Brian White omu ku bannaKampala abalazi b’ensimbi aweerezeddwa ekibaluuwa ki Bakuyit’embuga yeewozeeko ku bulyazamanyi bw’Obukadde bwa Ssente za wano ebikumi ebitaano bwagambibwa obutasasula ku mmotoka ya Benz emu ku ezo mwabadde nga alagira ensimbi.

Ono ayitiddwa kkooti ewozesa egy’ensimbi n’eby’enfuna oluvannyuma lwa Alex Binyenda okuddukirayo ng’alanga Brian White okumulyazamanya ensimbi eziri eyo mu Bukadde bwa wano 900 bweyamuguza mmotoka eno Number UBA 063J.Binyenda agamba nti abanjizza ssente zino n’obwoya kumpi kubula kumuggwa ku Ntumbwe nga mwanamulenzi Brian White yeefuulidde ddala Nnampulirazzibi.

ABALONZI TEBAJJUMBIDDE KULONDA MU ARUA

Omuwendo gw’abalonzi mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Munisipaali ya Arua gwevedde negutaba nga bwegwasuubiddwa ssonga n’okulonda kwennyini mu bifo ebisinga ekutandise mu budde.Tutegeezeddwa nti weziweredde zino ez’amalya g’eby’emisana ng’abamu ku beesimbyewo bamalirizza okulonda nga Nusura Tiperu owa NRM,Bruce Musema munna FDC n’abalala sso ng’ate ye Kassiano Wadri eyazze ku bwannamunigina eyayoolwa poliisi luli  abawagizibe lwebagambibwa okuva mu mbeera tannalteewuluzibwa kusobola kwetaba mu kalulu ka leero.

Yo embeera tebadde ya bunkenke nga bweyabadde esuubirwa weewaawo nga poliisi n’amagye byayiiriddwa mu bungi naye okulonda kubadde kutambula bulungi awatali kuyingirirwa kwonna ob’olyawo nga kunaabaayo gyebujjako.Omusasi waffe Moses Kidandi atangaazizza ku mbeera n’okulonda nga bwekutambula.