BESIGYE AVUDDEYO KU BABAKA BAKUBE

Eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Ret Col Dr Kiiza Besigye asizidde ku kitebe kyabwe ab’oluuyi oluwabula Gov’t ku luguudo lwa Katonga wano mu Kampala n’ategeeza nti aliko naye ekibinja kya bannamateeka ky’alonze kyegatte ku bannamateeka abaaweerezeddwa e Gulu bakwataganire wamu mu kaweefube w’okwanguyaako ensonga z’okuyimbula ababaka abaasibiddwa n’abatali mu mbeera nnungi mu nsonga z’obulamu bajjanjabwe ng’ekibinja kino kikulemberwa Erias Lukwago.Besigye alaze obwennyavu eri embeera egenda mu maaso mu ggwanga n’ategeeza nti kiragira ddala nti obufuzi obugoberera amateeka tebukyaliwo.

BABIRI KU BABAKA ABAKWATE BALI BUBI

Omubaka wa Kyaddondo East mu lukiiko lw’eggwanga Robert Kyagulanyi Bobi Wine ne munne owa Mityana Francis Zaake embeera yaabwe tewoomya Nnakabululu oluvannyuma lw’okukubwa nebalekwa ne mu kkubiro.Mubaka munnaabwe era omu ku bannamateeka baabwe Medard Lubega asinzidde Gulu ku kkooti gyebagenze okulaba nga bannaabwe basimbwa mu mbuga z’amateeka n’atutegeeza nti ababaka abalala bonna abaakwatibwa bakkiriziddwa okubalaba ng’oggyeeko ababiri abo.Ono agamba nti Zaake ateeberezebwa kuba ng’akuumirwa Makindye ate Robert Kyagulanyi ajjanjabirwa Gulu.

Bano nga bakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona ne Asuman Basalirwa beerayiridde obutava Gulu okutuusa ng’abantu baabwe basimbiddwa mu mbuga z’amateeka. Medard Lubega gwetwogeddeko naye mu Kalasamayanzi akayise ategeezezza ekibatutte e Gulu kulaba nga bannaabwe banunulwa n’okwetegereza emisango gyennyini egibagguddwako.

OMUSOMESA LY’EDDAGALA LY’ABATULUGUNYIZIBWA EKA

Abasomesa basabiddwa obutalekereranga baana batawanyizibwa mu maka naabo abatulugunyizibwa nga tebabayambyeko kugonjoola bibalemesa kuyiga.

Juliet Sseggujja omusomesa akola ku nsonga z’abaana mu limu ku matabi ga Kids Club Kampala ekimu ku bitongole by’obwannakyewa ekibudaabuda abaana abayita mu kugezesebwa erya Katanga Resource Center agamba nti omwana atulugunyizibwa eka gyava aba asigazizza musomesawe yekka okumujuna nti era ssinga alekererwa yeemu ku nsonga ezibaviirako okudduka mu maka ga bazadde baabwe nga mpaawo abajuna.

Juliet Sseggujja agamba nti engeri abasomesa gyebatendekebwa n’okubudaabuda abasobeddwa ekimanyiddwa nga Guidence and counseling bwebalaba embeera eno mu bamu ku baana be basomesa bababudaabuda abaana nebababuulira emberebezi weeva era nebatandikiraawo.Kinajjukirwa nti alipoota y’ekitongole ky’ensonga z’abaana ekya UNICEF yalaga nti abaana basatu ku baana bana mu ggwanga wano baali batulugunyiziddwako mu ngeri emu oba endala.

BRYAN WHITE ATUUYANA BWE ZIKALA

Brian Kirumira amanyiddwa nga Brian White omu ku bannaKampala abalazi b’ensimbi aweerezeddwa ekibaluuwa ki Bakuyit’embuga yeewozeeko ku bulyazamanyi bw’Obukadde bwa Ssente za wano ebikumi ebitaano bwagambibwa obutasasula ku mmotoka ya Benz emu ku ezo mwabadde nga alagira ensimbi.

Ono ayitiddwa kkooti ewozesa egy’ensimbi n’eby’enfuna oluvannyuma lwa Alex Binyenda okuddukirayo ng’alanga Brian White okumulyazamanya ensimbi eziri eyo mu Bukadde bwa wano 900 bweyamuguza mmotoka eno Number UBA 063J.Binyenda agamba nti abanjizza ssente zino n’obwoya kumpi kubula kumuggwa ku Ntumbwe nga mwanamulenzi Brian White yeefuulidde ddala Nnampulirazzibi.

ABALONZI TEBAJJUMBIDDE KULONDA MU ARUA

Omuwendo gw’abalonzi mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Munisipaali ya Arua gwevedde negutaba nga bwegwasuubiddwa ssonga n’okulonda kwennyini mu bifo ebisinga ekutandise mu budde.Tutegeezeddwa nti weziweredde zino ez’amalya g’eby’emisana ng’abamu ku beesimbyewo bamalirizza okulonda nga Nusura Tiperu owa NRM,Bruce Musema munna FDC n’abalala sso ng’ate ye Kassiano Wadri eyazze ku bwannamunigina eyayoolwa poliisi luli  abawagizibe lwebagambibwa okuva mu mbeera tannalteewuluzibwa kusobola kwetaba mu kalulu ka leero.

Yo embeera tebadde ya bunkenke nga bweyabadde esuubirwa weewaawo nga poliisi n’amagye byayiiriddwa mu bungi naye okulonda kubadde kutambula bulungi awatali kuyingirirwa kwonna ob’olyawo nga kunaabaayo gyebujjako.Omusasi waffe Moses Kidandi atangaazizza ku mbeera n’okulonda nga bwekutambula.

AMBULENCE ESSE OMWANA ELUWEERO

Omwana ow’obuwala ow’emyaka 11 afiiriddewo mbulaga bwatomeddwa mmotoka y’ekika ky’Agafeemulago mu bitundu bye Luweero.

Kitegeezeddwa nti mmotoka Number UAB 024Y yeetomedde omwana Nabbumba Flavia ku luguudo lwa Gayaza-Ziroobwe ng’abadde mwana wa mutuuze ku kyalo Ndeeba mu Luweero.Mmotoka eno ekuumirwa ku poliisi ate Omulambo gw’omwana gukuumirwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Kalagala.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Savanna Paul Kangavve akakasizza okufa kw’omwana ono n’okukwatibwa kw’omugoba wa mmotoka eno.

ABASOMESA BAWABUDDWA KU BAANA ABATULUGUNYIZIBWA

Abasomesa basabiddwa okwetegerezanga abaana be basomesa basobole okulaba abatulugunyizibwa mu maka gye babeera n’abalabika okuba nga bayita mu bulamu obw’okugezebwa ebiyinza okubalemesa okuyiga obulungi.

Juliet Sseggujja omusomesa akola ku nsonga z’abaana mu limu ku matabi ga Kids Club Kampala ekimu ku bitongole by’obwannakyewa ekibudaabuda abaana abayita mu kugezesebwa erya Katanga Resource Center agamba nti okuyiga kw’abaana kuddizibwa nnyo emabega ebiriwoozo by’obweraliikirivu ebibabeera mu bwongo bwatyo n’asaba abasomesa okufangayo ennyo okwetegereza abaana be basomesa bano babudaabudibwe nga tebanneekyawa kuva mu masomero.

Alipoota y’ekitongole ky’ensonga z’ebyabaana ekya UNICEF yalaga nti abaana basatu ku bana mu ggwanga wano baali batulugunyiziddwako mu ngeri emu oba endala.

BUNYANGABU ETAWAANA NA BBULA LYA DDAGALA

Abasawo mu ddwaliro lya Gavumenti erye Kisomoro ekisangibwa mu ggombolola ye Kisomoro mu district ye Bunyangabu banaatera kunoga Mululuuza,Bigagi,Ssere na Sseziwundu bayengere abalwadde oluvannyuma lw’okuggweebwako eddagala erisinga okwetaagibwa abalwadde.Atwala eddwaliro lino Sarah Kabaranzi ategeezezza nti eddagala erijjanjaba ebirwadde by’obukaba,eby’ekiziyiro n’endwadde z’emimiro ssaako obuyiso obuyisibwamu eddagala eri abalwadde abatakubwa Mpiso za muddiringana obumanyiddwa nga Cannulas.

Ono agamba nti ekitongole ky’eby’eddagala eky’eggwanga kyasemba okubawa eddagala emyezi Ena egiyise nga bazzenga badduukirirwa kitongole kya Bubirigi ekya Beligian Development Agency okuva mu mwezi ogw’okuna ng’abalwadde ebiro bino babasindika mu ddwaliro lye Fortportal ate eriri ewala ennyo.

POLIISI EKKIRIZZA OKUKWATA ABABAKA MU ARUA

Poliisi mu Arua ekakasizza okukwatibwa kw’ababaka abawerako ku luuyi oluwabula Gavumenti mu lukiiko lw’eggwanga olukulu embeera bweyayonoonese akawungeezi akayise Kabwejungira Museveni bweyagwisanyizza obwenyi n’abali ku luuyi olwo abawagira Kassiano Wadri azze ku bwannamunigina ku bubaka bwa Munisipaali eyo.

Aduumira poliisi mu ttundutundu eryo Jonathan Musinguzi ategeezezza nti weewaawo Wadri be baamukutte n’ababaka baatannayasanguza mannya wabula Bobi Wine tebamulina.Byo eby’okwerinda eruuyi eyo bikyayongerwamu ebirungo olw’akalulu akasuubirwa olunaku lw’enkya okuba aka kanaayokya ani.

MABIRIIZI AJULIDDE KU BYA TOGIKWATAKO

Munnamateeka Male Mabiriizi asibidde mu kkooti ejulirwamu ng’awakanya ebyasalibwawo kkooti ya Ssemateeka eyatuula e Mbale ku misango egyagiwawaabirwamu ku kuggya ekkomo ku myaka gy’abeegwanyiza entebe y’obukulembeze bw’eggwanga n’okukyusa obuwanvu bw’ekisanja ky’ababaka okuva ku myaka etaano okudda ku myaka omusanvu.

Mabiriizi nnamutaayiika w’empaabaye gwatwalidde ku kamotoka k’ekika kya Nsangabisibe k’apangisizza amukwasizza amyuka omuyingiza w’emisango embuga mu kkooti eyo Geoffrey Angwania Opethene ng’agamba nti ebyasalwawo kkooti eyo bingi teyakkanya nabyo kyavudde akwata mu Mmanvu n’ajulira Amaduudu.