OMUMULI GW’EBY’ENNONO-KIBUUKA

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kazooba olwa Bbalaza,ennaku z’omwezi ziri 17th omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu.

Leero njagadde twogere ku nnono z’erinnya Kibuuka.

Erinnya lino lyatandikira ku Musajja Kyobe mutabani wa Wannema abaabeeranga e Ssese mu Bizinga.

Erinnya Kibuuka,Kyobe yaliggya ku ngeri gyeyajjamu ku lukalu ng’ava e Ssese,banne bwebaali baamusaba asaabale nabo mu lyato n’agaana era n’abasaba basaabale bagende.

Kalyesubula ne banne bagenda okugoba ku lukalu nga Kyobe mutaka wajjo nebeebuuza nti’’ Ono abuuse bubuusi?’’ weyaggya erinnya Kibuuka.

Kibuuka yasimba ekitooke nga y’akagoba ku lukalu e Nsamu ku mwalo Mulindi.

Kino olwassa abanyolo nebagenda bayunjeeko ettooke,Kibuuka olwabalaba n’atanula okulwana nabo okutuusa lwebaamutta.

Ku kitooke kino Abaganda baggyako olugero nti ‘’ Oli kalunsambulira nga Kitooke kya Kibuuka’’.

Kibuuka ono era y’amanyiddwanga Kibuuka Omumbaale eyalwanirako Nakibinge Omulwanyammuli mu lutalo n’Abanyolo.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO-SSAABADDU,SSAABAGABO,SSAABAWAALI NE MUSAALE

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Nagawonye olw’okutaano,ennaku z’omwezi ziri 7th omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu.

Leero njagadde tutangaale ku mannya g’ebitiibwa byozze osomako mu kawaayiro kaffe kano okuli;Ssaabagabo ,Ssaabaddu,Ssaabawaali ne Musaale.

Ebitiibwa oba amannya gano byaweebwanga bakulu abamu ku b’amasaza ga Buganda okugeza;

Kaggo afuga Bulemeezi ewaffe mu Balyannaka ye Ssaabaddu wa Buganda nga Ssaabaddu kitegeeza y’afuga abaddu bonna oba abasajja ba Kabaka.

Mukwenda afuga essaza lye Ssingo ye Ssaabagabo w’Obuganda akuuma engabo ya Kabaka Kamanyi.

Ssekiboobo afuga essaza lye Kyaggwe ye mukulu w’abaddu bonna abawuulu edda abaayitibwanga Abawaali era ye Ssaabawaali.

Kayima afuga essaza lya Mawokota ye Musaale eyakulemberangamu olunyiri lw’abalwanyi ba Kabaka nga bagenda okutabaala bwatyo n’asigaza obwa Musaale.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO- KASAMBULA OGW’OMUSANVU

Olwa leero lwa Kazooba,Bbalaza ennaku z’omwezi ziri 3rd omwezi guno ogwa Kasambula Ogw’omusanvu gwetwakatandika.

Ng’ennono z’akawaayiro kaffe kano ak’amakulu n’ennono y’erinnyalyo bweziri,buli ntandikwa ya mwezi twogera ku nnono y’erinnya ly’omwezi ogwo.

Omwezi guno gumanyiddwa nga Kasambula engeri okuva edda gyegwayakangamu omusana era Abaganda mwebaasambuliranga oba mwebaategekeranga aw’omusimba mu masimba agaddiriranga mu mwezi gw’omunaana.

Olw’omulimu guno ogwakolerwanga mu mwezi guno ogw’okusambula Omuganda yasalawo gutuumwe Kasambula.

Omusomi waffe jjukira nti Omuganda yatuumanga amannya okusinziira ku mirimu gyeyakolanga n’ekiseera mweyagikoleranga.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO- ERINNYA LUBAGA

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Kazooba olwa Bbalaza,ennaku z’omwezi ziri amakumi 26th omwezi guno ogwa Ssebaaseka ogw’omukaaga.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde ennono y’erinnya lw’Olusozi Lubaga.

Olusozi luno kwe kwalinga Olubiri lw’Obwakabaka bwa Buganda olukulu nga lwabeerako emyaka egiwera.

Kabaka eyasembayo okubeera mu Luiri luno olwali ku lusozi Lubaga ye Kabaka Ndawula Nsobya ow’ekkumi n’omwenda eyafuga Obuganda wakati wa 1724-1734 weyakisiza Omukono.

Olwaba olwo ng’Olubiri luno lwakwata omuliro oluvannyuma lw’okukubwa eggulu era neruggwaawo lwonna.

Abawanuuzi baawanuuza ebiyinza okuba nga bye byaviirako Olubiri luno okukubwa eggulu era okukkakkana nga Kabaka alagidde basajjabe okuzzaawo Olubirirwe ku ntikko y’olusizi lwali luliraanye luno olw’e Mengo.

Oluvannyuma olusozi Lubaga lwaweebwa abasomi baluzimbeko ekiggwa kya Katonda nga bano baakulemberwamu Omufaransa Father Pierre Lourdel Monpel ne Brother Amans.

Bano be baakulemberamu abakkiririza mu nzikiriza y’Abaruumi/Romans abaakazibwako Abakatoliki nebatandika okubaga n’okusamba ettaka eryazimba ekerezia eyasooka okwo ssaako okusala e Ssubi eryagisereka.

Olw’Ekerezia okuzimbwa ku lusozi abaaluwalampanga nga baagala okulaba ekigenda mu maaso bwe baatuukangayo nga balaba nnene atenga omulimu ogutannakolebwa munene be baagamba nti ‘’Ooh gano gakyali mabaga’’.

Olw’ebigambo bino okuddinganwa ennyo abeeru baalowoozesebwa nti ob’olyawo lyerinnya ly’ekifo kino nabo nebatandika kugeegeenya ekyo okukkakkana nga kikaziddwako Lubaga.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO-MUGERERE E BUGERERE

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Mukasa Olw’okusatu ennaku z’omwezi ziri 21st omwezi guno ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Leero tutunuulidde ennono z’erinnya ly’Ow’essaza Bugerere erya Mugerere.

Ekitundu ky’essaza lino ekiriranye amabira ga Kyaggwe kyayitibwanga Bulondoganyi nga n’abakibeeramu bayitibwa Balondoganyi era Obugerere bwennyini bwafugibwanga omukulu eyayitibwanga Namuyonjo n’abantube ne bayitibwa Banyala.

Omuzira Semei Rwakirenzi Kakungulu ye yagaziya ennyo Obulondoganyi/Obugerere buno ng’amaze okulwanyisa Namuyonjo eyali afugayo ku lw’Omukama wa Bunyoro.

Erinnya Mugerere lyali lya Balangira ba Banyala ab’enda ya Namuyonjo mu Bukama bwa Bunyoro wabula oluvannyuma lyalondebwa okusigala nga ly’ery’ow’essaza eryo.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO-ERINNYA BOOGERE

Olwa leero lwa Nagawonye olw’Okutaano ennaku z’omwezi ziri 16th omwezi ogwa Ssebaaseka Ogw’omukaaga.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono,leero tutunuulidde erinnya Boogere.Erinnya lino litera okutuumwa ng’eribbule nga mu lulyo olwo lyaliko alirina ate abalala nebalituuma nga lya bwalule.

Erinnya lino lituumwannyo abaana ab’obulenzi naye ng’emirundi egisinga litera kuweebwa abo abaana ababa bazaaliddwa ng’embuto za bannyabwe ezo zoogereddwa bingi.

Erinnya lino lya lugero nga lugamba nti ‘’Bakale boogere nga bamugambye gwayagala’’ ekitegeeza nti emirundi egisinga omuntu bwayogerwako amazima tatera kukaalaamuka atera n’abita.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO: ensengeka y’obudde bw’emisana

Olwa leero lwa Kazooba olwa Bbalaza ennaku z’omwezi ziri amakumi 29th omwezi guno ogwa Muzigo ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe kano ak’Omumuli gw’eby’ennono njagadde leero tutunuulire ensengeka y’obudde bw’emisana n’amannya ge bwaweebwa Omuganda.

Okutandika n’essaawa emu okutuuka essatu ez’okumakya buba budde bw’amalima/Amakunsammimbi/obw’Amanywataba.

Ssaawa ssatu okutuuka ku ttaano ke tuyita Akalasamayanzi wano akasana wekatandikira era kano ke kaggyanga Amayanzi mu Ssanja mwegaabanga geekwese ne gatandika okubuuka.

Ssaawa Mukaaga lyetuyita ettuntu kubanga omusana mwegwatandikiranga okutuntumuka.

Ssaawa musanvu okutuuka ku munaana ze tuyita ez’amalya g’eby’emisana/ez’amagwamubibbo/ez’amasaabamanzaali olw’emmere n’ebyassava ebiba mu budde obwo.

Essaawa munaana okutuuka ssaawa kkumi lye ggandaalo buno bwabanga budde bwa kuwummuliramu oluvannyuma lw’okulya nebapiiya.

Ssaawa kkumi okutuusa kkumi n’emu gaabanga makola ga byaggulo n’ekkumi n’ebbiri neziba ez’amayingira g’enkoko.

Olwo essaawa emu akawungeezi gaabanga malya ga byaggulo era Omuganda olwamalirizanga eky’eggulo baddanga mu kufuma na kugera ngero omwabanga obubaka obugunjula emiti emito.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO – Abazadde okuyomba ng’abaana balaba

Olwa leero lwa Kiwanuka Olw’okuna ennaku z’omwezi ziri amakumi 25th omwezi guno ogwa Muzigo ogw’okutaano.

Ng’abaana baffe bwebali mu nnaku ezisembayo badde ku masomero nga n’abamu bazzeeyo ssabbiiti eno entanda eno egenda eri abazadde ng’ennono mu nkuza y’abaana.

Ssi kyannono abazadde okunenengana oba okuyomba ng’abaana balaba ssi nakindi nga bawulira.

Kino bwekibaawo abaana batawanyizibwannyo mu bwongo omuzungu kyayita Psychological torture nga beebuuza ku babiri taata ne maama ani mutuufu ani mukyamu era bakkiririze mu ani.

Ng’abaana baffe bwebadda ku masomero mu ggandaalo lino,abazadde mwewale okulumaganira mu nziza y’abaana ku masomero abaana baleme kugenda na kizibu kino ku bwongo kubanga kiyinza n’okubalemesa okuyiga obulungi.

Mu nkuza y’abaana ey’ennono abazadde tebasaanidde kulaga butakkanya bwabwe eri baana,woofiisi y’abazadde gyebeenenyeza ky’ekisenge gyebasengekera ensonga z’amaka sso ssi mu lujjudde wadde mu maaso g’abaana.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO : Erinnya ly’ekyalo Mpenja e Gomba

Bya Kizindo Lule

Olwa leero lwa Mukasa Olw’okusatu ennaku z’omwezi ziri 24th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Olunaku lwajjo twatunuulidde ennono z’erinnya ly’omutala Buyinjabutoole ogusangibwa mu Ssaza lya Beene erye Ggomba.

Omutala omulala oguliranye Buyinjabutoole ye Mpenja, ka leero nagwo tugwogereko.

Omugabe Wasswa Balamaga Kabaka gweyatuma okulwanyisa abanyoro abaali mu kitundu kino aba abasiindiikirizza okumala ekiseera era ng’alaba kati atandise kunojjola banojjole yalagira basajjabe nti mutandike kuwenja bawenje wonna webeekukumye.

Wasswa Balamaga okuyisa ekiragiro kino yasinziira ku lusozi waggulu era basajjabe buli omu weyayitanga ng’agamba nti ‘’Mpenja banyoro’’.

Olusozi Balamaga kweyasinziira okulagira basajjabe okuwenja abanyoro lwerwatuumibwa Mpenja n’okutuusa olwa leero.

OMUMULI GW’EBY’ENNONO : Erinnya ly’owessaza lya Beene erya Buweekula

Olwa leero lwa Mukasa Olw’okusatu ennaku z’omwezi ziri 17th omwezi ogwa Muzigo Ogw’okutaano.

Mu kawaayiro kaffe ak’omumuli gw’eby’ennono leero tutunuulidde erinnya ly’owessaza lya Beene erya Buweekula amanyiddwanga Luweekula.

Ennono y’erinnya lino yava ku njasabiggu y’omusajja amanyiddwanga Kyewaalabye eyali ow’Ekkobe eyawangula ku Bunyoro ekitundu ekyafuukamu essaza lino erya Buweekula.

Omusajja ono Kyewaalabye yali wa ntisannyo era abakyala abanyoro baalemererwanga n’okuggya abaana baabwe ku migongo babayonse.

Kale bwebaalabanga Kyewaalabye yeewunguddemu nga babaguliza ku bannaabwe nti ‘’Abange muweekule abaana ku migongo mubayonse’’

Enjogera eyo Kyewaalabye kweyava amale ayitibwe Luweekula n’ekitundu oluvannyuma ekyamukwaswa Kabaka Kamaanya e Kasengejje nekituumwa Buweekula.

Erinnya lino era ligereesebwa okuba nga lyaggyibwa ku muzira eyaweekula ekitundutundu ku Bukama bwa Bunyoro Kyewaalabye,ekitundu kye yaweekula ne kituumwa Buweekula naye n’atuumwa Luweekula.