CHAMELEONE TALABISE MU KUSABIRA MWOYO GWA MUGANDAWE AK47

Omuyimbi ow’erinnya Joseph Maynja amanyiddwa nga Jose Chameleon talabiseeko waabwe e Kalangaalo mu Mityana mu kusabira omwoyo gwa mugandawe Emmanuel Hummerton Mayanja eyamanyibwa ennyo nga AK47 naye eyali omuyimbi nnakinku.

Okusaba kuno kwategekeddwa abayimbi abaali mikwanogye era mikwano gy’enju mweyazaalwa.Bwakulembeddemu okusabira omwoyo gwa AK47,Rev Fr John Kintu akubirizza abantu abagaggawala ne beerabira abantu baabwe n’abenganda zaabwe okweddako kubanga eby’obugagga byansi.

 

BAD BLACK ASUUBIZZA OKUKUBA BANNAYUGANDA OMUZIKI

Mwanamuwala Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black ekkomera alifulumye na nkuba mpya anti oluvuddeyo n’asuubiza bannayuganda okubakubira emiziki beekwate ne mu byenda.Bad Black wetwogerera ayolekdde situdio kuyimba ayolese ekitone kyeyafunidde mu kkomera mwamaze emyaka ebiri.Shanita Namuyimbwa ategeezezza nti manager(maneja) gwalina amuganye okwatuukiriza ennyimba z’aleeta ssikulwa ng’abayimbi ba wano bazikoppa nebazibba.

Bino Badblack abyogedde bwabadde akyaziddwa ku Tv ya Delta mu program ya Mega Doozi eweerezebwa Katongole Omutongole. Wabula bwabadde mu program eno akubye Katongole ekimoni bwayagadde okumukwanira kumpewo, bwagambye nti tasobola kumulabirira wadde olunaku bweruti mbu kubanga ye nga Badblack wabbeeyi nnene mpozzi ng’ayagala atunde akamotoka ke n’ebyobugaggabwe.

Bad black agambye nti ye yeetekamu ebinusu kubanga n’okumufula omweru eddagala yalikima Thailand,era kati agenda kuddayo mbu aleete ekizigo ekipya olwo akasusu kafuukire ddala ka muzungu.

Badblack bwabuuziddwa oba akyali ne Bbaawe omuzungu Greenhard, agambye nti ye tabeerangako na bba muzungu nti era ne Meddy Ssentongo tamumanyi, kirabika Badblack oli omuddugavu y’abamanyi naye ono Badblack omweru tabamanyi.

Badblack agambye nti omusajjawe gwalina kati tajja kumwogera mu bantu, wabula ali muno mu Uganda era teri amusinga kunyirira nansimbi.

BOBI WINE EBBANJA LINAATERA OKUMUSIIWUULA

Nga bwebaalugera nti lwakwaka nga misana kaakiro tabulamu,n’eby’omuyimbi Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobie Wine ssi birungi ebiro bino olw’amabanja agaagala okumutuuka mu bulago era agatakyamuganya na kwebaka ng’ow’olugambo lwaffe atutegeezezza nti asula akulungutana ssinakindi okunaaba enfunda eziwera mu kiro olw’olubuguumirize olwamuzinda oluva mu kweraliikirira.Tutegeezeddwa nti ekitongole ekiwoozi ky’emisolo kiwandiikidde muzzukulu wa Kayiira ono enfunda eziwera ng’abanjibwa ensimbi eziri eyo mu Bukadde bwa ssente za wano amakumi 54 okuli emisolo egiwoozebwa ku nnyingiza y’omuntu (Income tax) okuva mu mwaka gwa 2008 okutuusa leero ne kantanyi w’engassi olw’okulwawo okusasula.

Amalala agatusomoleddwayo galaze nti mwanamulenzi Bobie Wine yeefuulidde ddala nnampulirazzibi eri amabaluuwa agazze gamuweerezebwa nti ate bwanaagenda mu maaso n’okwesuulirayo ogwa nnaggamba ensimbi zino zandibalirwamu n’amagoba.Kimanyiddwa bulungi nti Omubanda wa Kabaka ono y’omu ku bayimbi ba wano ensimbi beziyitaba obuyitabi ng’alina n’amaka agatemya ng’omuntu g’tasobola kuwa muvubuka wa myakagye agasangibwa ku kyalo Magere ku ludda e Gayaza,ekizimbe kya Ssemaduuka,ekifo omukyakalirwa wano e Busaabala ku nnyanja Nnalubaale,amaato agakyakalirwamu mu kifo kino n’emmotoka ezaakazibwako ensajja.Gonna getunaagenda tukunojjolera okuva ew’omugagga kati atandise okutunula ebiriroliro tuli ba kugakutuusaako ng’ow’olugambo lwaffe bwanaagenda agawuliriza.

OMUYIMBI GEOFFREY LUTAAYA SSENTE ZIMUWUNYIRA ZIIZI

Nga bannayuganda bangi ensimbi ebiro bino zibeekubya mpi nga n’abalala batambula boogera bokka olw’ebbula ly’ensimbi,ye omuyimbi Geoffrey Lutaaya alabika zaalina zimubuzizzaako waaziteeka ng’atandise na kuzigoba.

Ow’olugambo waffe atutegeezezza nti mwanamulenzi Geoffrey Lutaaya alina ka poloti keyagula obukadde amakumi 40 gyebuvuddeko wano mu Makindye ng’omugagga abadde ayagala kukamusasula obukadde ebikumi 450 obwa ssente za wano Musajjamukulu Lutaaya n’amugobya ssenteze.

Kyewunyisa ng’ate kituufu ka poloti kano ssi keekali awalungi ennyo kyokka nnyiniko eby’okukatunda ‘Obusente Obuganda’ oba ‘Obugolo’ nga bwebuyitwa ensangi zino ssibyaliko.Tutegeezeddwa nti bbulooka eyabadde aleese ‘ddiiru’ nga bwebabyogera yaweddemu amanyi n’agenda ng’awotose byansusso.

BETTY MPOLOGOMA ANONYA ANAAMUBIITA

Omuyimbi ow’erinnya Betty Mpologoma ddaaki amaliridde n’ayatula nti omukwano gumusuza bubi olw’okubulwa amubikka atenga n’abaalimweyunidde olw’endabikaye balowooza aliko amubiita kyagambye nti kimuyisizzaako abasajja bangi beyaaliwadde omukwano nebamutenda bweyatuukirira.Mwanamuwala ono ategeezezza nti mu mazima yeetaaga omwami anaamuwasa nga naye mwetegefu okumutwala ewaabwe amwanjulire abazadde.

Mpologoma agambye nti abawagizibe baagala kumubuzaako waawummulira anti buli lwebamulabako bamubuuza mwami ng’abasinga balowooza nti akyatinkiza n’omuyimbi Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr Tee eyali mwamiwe okumala ekiseera.Mpologoma agambye nti Dr Tee yeefuniradda ekimyula ki-nkubakyeyo kyeyawasa era n’amwesonyiwa nga kati nnyabo waabwe ebiro bino talina amubikka wadde amugumya weyandibadde yeetaagira omubeezi.

 

 

 

-Bukedde

EDDY KENZO AGENDA KWEGERA EMBAVU NE CHEMELEONE MU KORA AWARDS

Abanyumirwa emiziki gy’abayimbi abanene ababiri okuli aba Eddy Kenzo n’aba Jose Chameleon bukya lubanga lwa mmindi basobeddwa eka ne mu kibira.Abanene bano baalondeddwa mu kiti ky’emiziki kimu mu mpaka ezimanyiddwa nga KORA Awards ekisobedde abawagizi baabwe ku kiki ekinaddirira.

Abawagizi ba Chameleon bagamba nti oluyimba lwa Eddy Kenzo lweyatuuma ‘Zigido’ mu kulondebwa kwalyo tebeeyambisizza Vediyo yaalwo ntuufu abawagizi ba Kenzo kyebasambazze nga bagamba nti kuno kuwereba muntu waabwe nziro.

Enjuyi zombi zinonya buwagizi  wabula oluuyi olumu lulaba lwandisaanidde ekisinga kw’ekyo kyerwandifuna.Wabula bo baanabalenzi bano abayimbi babadde tebannayingizibwa mu nsonga zino weewaawo ng’era buli omu yeegwanyiza kuwangula munne.Guno gwe mulundi ogusoose baanabalenzi bano bombi okufaanana abatomeragana ssonga gyebuvuddeko enkolagana yaabwe ebaddenga tebuusibwabuusibwa.Mu kawaayiro ka Vedeo esinze mulimu Tiwa Savage ne Mr Flavour awamu n’abayimbi abalala.Empaka zino zaakubeerawo mwezi gwa Mugulansigo Ogw’okusatu mu ggwanga lya Namibia.

GOLDEN BAND ESIBA BIKUTUKA

Enkambi ya Golden Production eseeyeeyeza ku mazzi nga kitengejja ensangi zino oluvannyuma lw’omu ku mpagi luwaga muyo Muzzukulu wa Ssenkoole Mesarch Ssemakula okuba omulwadde ebitagambika.Agava mu nkambi eno gagamba nti akaseera keekulungudde nga Ssemakula talabwa mbu wabula bagenze okumanya nga musajja wattu ali ku ndiri lumabala mbiriizi.

Omu ku bayimbi ab’amannya mu Band eno Moureen Nantume omu ku bakyasinze okubeera abeeraliikirivu awandiikidde banne obubaka bw’oku ssimu ng’agamba nti esaala yonna eyeetaagisa okusaba baakugisaba ku lw’obulamu bwa Semakula gw’agambye nti yeeyamufuula kyali nti era taba ye ssinga naye tali kyali.

Ono awandiise n’essaala gyaweerezza eri Kawamigero Katonda ng’amusaba amukuumire obulamu bw’empagi Sseddugge mu bulamubwe Mesarch Ssemakula gwayise kitaawe mu kisaawe kino era ali ku ndiri mu makaage wano e Buziga.Mu ssaala eno Nantume agambye nte azze asaba Mukama bingi era ebinene n’abimukolera awatali kukoowa bwatyo awo waasinzidde era n’amusaba abamujjanjabire kubanga nabo ssikyangu kulama nga ye talamye.Ag’omunkuubo gagamba nti Ssemakula azee atawanyizibwa ekirwadde kya sukaali weewaawo nga Nantume tayogedde kiruma ‘Kitaawe’ Semakula.

DAVID LUTALO OMWAKA AGUTANDISE NA ‘MANYA’ MU KIVVULU KY’OMWAKA

Omuyimbi ow’erinnya David Lutalo omu kubayimbi abalina amaloboozi  agakira ennanga amalirizza enteekateekaze ez’okutongoza olutambirwe olw’omunaana lweyatuuma ‘Manya’ mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okutandika n’ennaku z’omwezi amakumi 29th omwezi guno ogwa Gatonnya Ogw’olubereberye.

Ng’atandiikiriza okwesogga ekisaawe ky’okuyimba Lutalo yatandika n’akayimba akasuubirwa okuba nga kaazannyibwa kyenkana mu buli nnyumba wano mu ggwanga keyatuuma ‘Kapaapaala’ mu mwaka gwa 2008.Bannayuganda bangi abanyumirwa emiziki Lutalo bamwetaagako eddoboozirye erirabika obutafaanagana na lyamulala yenna ekimufudde omuganzi mu bibuga ne mu byalo mwanawattu neyeewangulira n’engule y’omuyimbi ow’embala mu mwaka gwa 2014.Abatunuulizi b’ebigenda mu maaso mu kisaawe ky’okuyimba mwanamulenzi ono bamuteeka mu biti eby’enjawulo;abamu bagamba nti ayimba Kadongokamu omulongooseemu olw’ekitone ky’eddoboozirye erikyukira mu mbeera yonna nerigyayo abalala bagamba nti ayimba RnB abalala nti Afro Beat n’abalala nti Reggae.

Ennyimba za mwanamulenzi Lutalo ng’oziwadde obudde oziwuliramu ebintu eby’omu bulamu obwa bulijjo omuli okulya obulamu n’okukyakala (Kapaapaala) enneeyisa y’abantu n’okuboola bannaabwe (Batusosola) enkwe mu bantu (Nandikulese),ennyimba ez’ennaku (Engumba zange) n’endala nnyingi ezitayawukana na bulamu bwa bulijjo.Ku lutambirwe olukyasembyeyo,Lutalo ayimbidde wamu n’abayimbi abalala ab’amannya nga;Eddy Kenzo,Bebe Cool,Radio ne Weasel aba Good Lyfe n’abalala.Mu lutongoza lwali mu kuboobeza ensangi zino Lutalo agenda kuwerekerwako abayimbi abalala bangi okuli baayimba nabo mu kibiinaakye ekya Da Hares,Bebe Cool,Bobie Wine,Radio ne Weasle,King Saha,Eddy Kenzo,Iryn Ntale,Cindy,Grace Nakimera,Coolerman n’abalala bangi.Lutalo okutongozakwe kuno akuggyirako akawuuwo ku wooteeri ya Africana wano mu Kampala nga 29th omwezi guno mu kifo wennyini weyatongoleza olutambirwe olwa ‘Akantu’.

ABAMBADDE KOOKOONYO BASATTIZZA ABASAJJA MU KAMPALA

Bawalajjana  bannakampala abambazi kabuzeeko bagwe ku migandu olw’abasajja be bassizza amabbabbanyi olw’obugoye obukira ebirawuli okutangaala bwebambadde ku mukolo abambazi kwebakwasiddwa ebirabo byabwe eby’okukira bannaabwe mu kwambala mu kusindana okutali kwa lunaku lumu okutegekeddwa aba Abyranz Fashion and Style okutuumiddwa Abyranz Fashion and Style Awards okubadde wali ku wooteeri ya Serena mu Kampala.

Abamu ku bawangudde engule z’obwambazi n’okuwa engoye ekitiibwa ye mukozi munnaffe Flavia Tumusiime aweereza program ya AM-PM eweerezebwa ku 91.3 Capital FM ng’awangudde engule y’omuweereza ow’okumpewo asinze mu bakyala n’abawala omwaka 2015,Omumbejja wa Tooro Bagaya ono ng’anyumirizza abagenyi gyenvuddewe mu bwambazi n’okwolesa ebyambalo nga wammaggwe tolema kukkiriza nti abadde asaanidde okuwangula.

Mu bigambo by’omumbejja ono bakira byayogeza essimbo ng’era omwana w’embuga nga tolema kumatira nti ddala y’abadde asaanidde engule eno nti era kyatuuseeko ddala akikoleredde.Bawalajjana bakira beesaza n’obugoye bwabwe olwo n’enkulabira abalenzi n’abasajja bwebataza amaaso n’okukuba emimiro ebitagambika.Omulangira Gaetano Kaggwa ne munnaKenya Vera be babadde ba Kalabaalaba b’omukolo guno ogubadde omusuffu  era omunyuvu engeri bakira gyebaguteekamu katemba n’amalala agabadde gakyaludde okulabwako wano mu Kampala.Abataddemu ensimbi kubaddeko Capital Radio 91.3 FM ,Cheki ne Ciroc.

EBIGGWA BY’ABAJULIZI BIKWASIBWA EKEREZIA OMWEZI OGUJJA

Okuddaabiriza ebiggwa by’abajulizi eby’e Namugongo ne Munyonyo kusuubirwa okuggyako engalo omwezi ogwa Gatonnya Ogw’olubereberye omwaka ogujja wegunaaggweerako.

Ssaabaminister w’eggwanga lino Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza nti okuddaabiriza okwatojjera jjuuzi ng’Omutukuvu Paapa Francis y’akasitula okuva mu ggwanga kugenda bukwakku weewaawo nga kwakuyimirizibwamu olw’ennaku enkulu ate kuddemu envuunulabibya mu Gatonnya awo nga tegusuubirwa kuyimirizibwamu okutuusa ng’okuyooyoota byonna kuwedde.