benon_biraaro

BIRAARO AWEZE OKUKUUMA EMIREMBE MU KULONDA

Munnakibiina kyabalimi ekya Farmers Party avuganya ku bukulmbeze bw’eggwanga Maj Gen Benon Biraro awanjagidde bannayuganda okwewalira ddala akavuyo mu kiseera ky’okusuula akalulu nebwekanaaba kawedde kiyambeko Uganda obutadda mu matongo.

Bw’abadde akwasibwa omusubbaawa ng’akabonero k’emirembe okuva mu bakyala abalwanirizi b’eddembe wansi wekisinde kyabwe ekya Uganda Women Network (UWONET) ku woofiisi zaabwe e Ntinda,Biraro asabye bannayuganda naddala abavubuka obutatabangula kalulu nga 18th omwezi ogujja ogw’okubiri  wabula bakunganye obujulizi bwonna bwebanaatwala embuga  singa okulonda kunaaba tekutambudde bulungi.

Wabula Biraro ategeezezza nti wakutambuza omusubbaawa guno ogw’emirembe mu kakuyegewe asigaddeyo kusobola okubunyisa enjiri eno ey’emirembe.

 

 

 

[fbcomments data-width="100%"]