hops

AMUDAT BEETAAGA DDWALIRO DDENE

District ya Amudat yeetaaga okuzimbwamu eddwaliro waakiri limu eriri ku ddaala lya Health Center Four okusinziira ku kunonyereza okuggya ku by’obulamu okukoleddwayo.

Akulira ekibiina kya Initiative for Social and Economic Rights Namusobya Salima agamba nti district eno esingamu bulwaliro buli ku mitendera gya Miruka obwa Health Center Two n’obwa ggombolola obw’eddaala ery’okusatu ng’abataka bangi ebirwadde byebaalitutte mu ddwaliro eddenedeneko basalawo waakiri baseegenga nabyo obulamu bwabwe bwonna olw’ebbula lya mmotoka ezitambuza abalwadde.

[fbcomments data-width="100%"]