Uganda's Prime Minister, standing center-left, addresses Members of Parliament in Kampala, Uganda Thursday, Sept. 21, 2017. Ugandan police on Thursday fired tear gas to disperse protesters and arrested dozens of people opposed to plans to introduce legislation that could allow the longtime president Yoweri Museveni to extend his rule. (AP Photo/Ronald Kabuubi)

AKABONDO KA NRM KALEMESEZZA PAALAMENTI

Ababaka mu lukiiko lw’eggwanga balaze obutali bumativu bwabwe eri okusazibwamu kw’emirimu gy’akakiiko k’eby’ebitabo by’eggwanga olw’okuba akabondo k’ababaka banna NRM kabadde kagenda kutuula.

Ensonga eno esiikudde kacaali mu babaka abamu ne beebuuza n’okwebuuza obanga ensonga z’akabondo obubondo zisobola okuyingirira emirimu gy’olukiiko lw’eggwanga emitongole egyalondesa ababaka.

Munna DP Florence Namayanja agamba nti kino ssi kaaki  ssi kya bwenkanya sso nga munne Beatrice Anywar agambye nti omukubiriza waabwe ebintu ng’ebyo asaananga n’abiteekanga ku lukalala lw’ebirikolebwa bireme kuyingirira nteesa z’ababaka.Bano babadde baayise abakungu b’ekitongle ky’eby’amasannyalaze ku nsonga z’ensaasaanya yabwe.

[fbcomments data-width="100%"]