election

ABE BUTEBO BALONZE SSENTEBE WAABWE

Okulonda Ssentebe wa district ye Butebo ekisangibwa mu Buvanjuba bw’eggwanga kugenda bukwakku nga bannabibiina ebiwabula Gov’t eramula kuno okuyayaanira ekifo kino baakukwatira olukato nebakuwummula olwokano nebalulekamu bannakibiina kya NRM n’abazze ku bwannamunigina.Butebo erimu abalonzi emitwalo 49,869 n’ebifo ebironderwamu 83 okwetooloola eggomboloa zonna omukaaga ezigikola okuli eye Kabwangasi,Petete,Kanginima n’endala.

Olwokano lulimu abantu babiri ajjidde ku kkaada y’ekibiina kya NRM Sam Akedi ne munne James Okurut munnakibiina kye kimu azze ku bwannamunigina.Atwala eby’okulonda eruuyi eyo Rashid Musinguzi ategeezezza nti okulonda kutandise bulungi nga n’aduumira poliisi eruuyi eyo Teaha Buyinza alabudde bannabyabufuzi abaaliyagadde okugotaanya akalulu kano nti baakusibira mu Nkomyo.

[fbcomments data-width="100%"]