magara

ABATTA MAGARA BAKYAKALIRIRWA

Omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ya Buganda Road wano mu Kampala Robert Mukanza ayongezzaayo okuwulira omusango gw’abantu omwenda abagambibwa okuwamba n’okutta omuwala Suzan Magara.Kino kiddiridde akuliddemu oluuyi oluwaabi Patricia Cingitho okusaba bongerweyo obudde olw’okunonyereza okukyagenda mu maaso.

Kinajjukirwa nti ng’ennaku z’omwezi 15th omwezi ogw’Omunaana omulamuzi y’omu yagoba okusaba kw’abavunaanibwa bano okw’okwongerayo ensonga za kyebayita okutulugunyizibwa mu kitongole ekikola ku nsonga z’abatulugunyiziddwa.Puliida waabwe Abdul Hakim Lubega ye yali atadde embuga okwemulugunya kw’abavunaanwa bano ng’agamba nti ab’eby’okwerinda baabatulugunyiriza mu buduukulu.

[fbcomments data-width="100%"]