Charles-Wesley-Mumbere11

ABABAKA BE KASESE BAKUKKULUMIDDE GAVUMENTI

Bannabyabufuzi abali ku luuyi oluwabula Gov’t ya kuno bategeezezza nti obutabanguko obuwulirwa mu bitundu bye Kasese buruubirirwamu kutulugunya bataka lwabutawagira kibiina kya NRM n’okusingira ddala omukulembeze w’eggwanga lino mu kalulu akaggwa obuwagizi bwabwe bwebaabugonnomola ku bannabyabufuzi abalala.

Bweboogeddeko ne bannamawulire ku palamenti mu ttuntu ly’olwa leero,ababaka okubadde Winnie Kiiza omukyala owa Kasese,William Nzoghu owa Busongora North,omubaka eyaakalondebwa owa Munisipaali ye Kasese Centenary Robert ne munnaabwe owa Busongora west Katushabe Godfrey bategeezezza nti embeera yonna egenda mu maaso mu Kasese wansi w’abaserikale ba poliisi n’amagye esowererwa Gov’t n’ekigendererwa ekiwoolera eggwanga mu bataka olw’obutawagira kbiina kino.

Bano era bongeddeko nti Gov’t eramula kuno eteekawo obulumbaganyi buno ng’eyita mu baserikale baayo n’ekigendererwa ekisiiga enziro Obusinga bwa Rwenzururu ssonga abantu baddembe okulonda omuntu yenna gwebaagala nga Ssemateeka w’eggwanga bwabawa ebbeetu.


PHOTO: www.redpepper.co.ug

[fbcomments data-width="100%"]