Tree shde

ABABADDE BASOMERA MU BISIIKIRIZE BY’EMITI BAWONYE

Omubaka wa Japan mu ggwanga HE Junzo Fujita era atadde omukono ku bbaluuwa ezigaba obuyambi eri amasomero mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuli;Akwanga SS erisangibwa mu district ye Agago,Bezza Al-Hijji SS erisangibwa mu Adjumani,ChildCare Padibe PS erisangibwa mu Lamwo,ne Kalongo PS ery’omu district ye Agago n’ekigendererwa ekirongoosa eby’enjigiriza.

Ng’ateeka omukono ku bbaluuwa zino HE Junzo Fujita asabye abaddukanya amasomero gano omukisa guno okugweyambisa okutumbula eby’enjigiriza by’abaana b’eggwanga ku w’obulungi bwalyo gyebujja mu maaso.

Mu bigenda okubakolerwa kuliko;okuzimbira essomero lya Akwang SS n’erinnaalyo erya Bezza Al-Hijji SS ebizimbe omusomerwa amasomo ga Ssayansi olw’abaana baabwe okumala ekiseera nga mpaawo webabisomera.Eddala erya Child Care Padibe lyakuzimbirwa ebizimbe bibiri n’entebe ezituulwako ebinaasomerwamu abaana baabwe ababaddenga basomera mu bittuluze by’emiti nga baakuzimbirwa ne kaabuyonjo ey’omulembe.

Bo bannaabwe aba Kalongo PS bagenda kuzimbirwa ekisulo ky’abaana ab’obuwala ekinaasuza abaana abali eyo mu bikumi ebibiri awamu n’okubawa entebe okunaasomerwanga.Abaddukanya amasomero gano basiimyennyo olw’ebibaweereddwa nebeeyama okubikozesa nga bwebiteekeddwa.

Kinajjukirwa nti ku lwa Kazooba essabbiiti eno omukulu y’omu yateeka emikono ku bbaluuwa endala era ezadduukirira eby’enjigiriza mu masomero n’amatendekero ana ng’obuyambi buno bubaweereddwa bannansi ba Japan ne Gov’t yaayo.


By Charles Kizindo

[fbcomments data-width="100%"]