IMMUNIZATION

ABAANA BUKADDE BAGEMESEDDWA POLIO

Abaana obukadde Musanvu abali wansi w’emyaka etaano be bagemeseddwa mu kiwendo ky’okugema polio Kagongobaza ekyakomekkerezeddwa eggulo mu ggwanga wonna.

Minister w’eby’obulamu Dr Eliaoda Tumwesigye ategeezezza nti kyamazima ddala abazadde bakolaganye bulungi n’abasawo mu bitundu by’eggwanga ebisinga ne bajjumbira okugemesa abaana baabwe.

Kinajjukirwa nti ku lw’okutaano lwa ssabbiiti ewedde ministry y’eby’obulamu ngeri wamu n’abagabirizi b’obuyambi mu by’obulamu baatandika kaweefube ono ow’okutalaaga ebyalo nju kunju nga abagema abaana mu kaweefube eyakomekkerezeddwa eggulo mu bitundu by’eggwanga ebisinga.

Okuddamu okugemesa abaana ekirwadde kino kyava ku nsalo zaffe buli lukya eziyingiza abantu n’abaana abatali bagemese okuva mu mawanga amalala naddala agataggweramu ddala busambattuko na ntalo ekiviirako abaana b’eggwanga okufuna ebirwadde ngakino mu ngeri etali ya Kyeyendere.

PHOTO: www.newvision.co.ug

[fbcomments data-width="100%"]