ABAANA B’OMUSERIKALE BAGGYIRIDDE MU NNYUMBA

Poliisi e Ntebe enonyereza ku nfa y’abaana ababiri abaggyiridde mu dduuka eryakutte omuliro mu kiro ekiyise e Kiwafu.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kampala n’emiriraano LLuke Owoyesigire ategeezezza nti bano kuliko Maria Anyango abadde atemera mu myaka ena ne mutoowe Esther Magero abadde ow’emyaka ebiri abaana ba Kusiima Evelyne ne Corporal Mukaga Tadeo Bunyara ow’ekitongole ekikuuma kabwejungira.

Ono ategeezezza nti kigambibwa nnyina w’abaana bano yabasibidde mu nnyumba n’agenda mu katale ng’enju ebadde ekozesebwa ng’edduuka atenga mwebasula.Okunonyereza okusookerwako kulaga nti Terefayina eyabadde mu nnyumba eno ye yabaluse n’ekwasa enju yonna.

[fbcomments data-width="100%"]