net photo

ABA NASSER BATANDISE OKUFULUMYA PAASIPOOTI

Omukungu w’ekitongole kya poliisi y’ensi yonna era omukwanaganya wa poliisi eno n’amawanga ag’ebunaayira AIGP Asana Kasingye alabudde abagezi mu by’okukuba ebiwandiiko abakakkalabiza ku nguudo ebbiri ezeewangulira ekitiibwa kino mu ggwanga wonna eza Nasser ne Nkrumah beegendereze nga bagingirira ebiwandiiko bya poliisi ya kuno kubanga essaawa yonna kaakubadda kebaagereesa akadda omufu.

Kasingye agambye nti bakitegeddeko nti ebiwandiiko bya poliisi y’ensi yonna emanyiddwa nga Interpol okuli ebbaluuwa eweebwa omuntu okukakasa enneeyisaye nti teriiko bbala(certificate of good conduct),Passport n’ebiwandiiko ebirala ebyeyambisibwa mu kutambuza abantu mu mawanga nti bikubirwayo kyagambye nti kyabulabennyo.Kino kiddiridde bannayuganda abawerako okukwatirwa mu ggwanga lya Kenya n’ebiwandiiko ebijingirire nga bagenda mu ggwanga lya Saudi Arabia ebisuubirwa okuba nga bizze bikubirwa ku Nasser ne Nkrumah.Kasingye agambye nti baatandisedda okutazaama obuufu bw’abantu bano nga bwebanaakwatwako baakusimbwa mu mbuga z’amateeka bawerennembe n’egyabwe egy’okweyita kyebatali.

[fbcomments data-width="100%"]