ALICE ALASO

OMUBAKA ALICE ALASO ABIYOMBEDDEMU,LWAKI TUYITIBWA BAYEEKERA?

Abamu ku babaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu n’okusingira ddala abali ku luuyi oluwabula Gov’t ya kuno bakyomedde Gov’t n’ebitongole byayo eby’eby’okwerinda okugenda mu maaso n’okubapaatikangako eky’obuyeekera mbu baagala kumaamulako Gov’t awamu n’okusibanga abawagizi baabwe abalangwa obwemage.

Omubaka wa district ye Serere omukyala mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Alice Alaso agamba nti talaba nsonga lwaki abantu baabwe bakyatulugunyizibwa nga n’omuntu waabwe Ret Col Dr Kiiza Besigye eyabakwatira bendera mu kalulu k’obukulembeze bw’eggwanga yalemesebwa okutwala obukulembeze bw’eggwanga bannayuganda bwebaamugonnomolako nga bayita mu kalulu akaakubwa jjuuzi ssong’ate munne Jack Wamai Wamanga owa Munisipaali ye Mbale agamba nti bino eby’okubayita abayeekera bitadde bannayuganda mu bweraliikirivu obutagambika ekitasaanidde.

Ku nsonga eno minister w’ensonga z’omunda mu ggwanga Rose Akol ategeezezza nti agenda kuteekawo okunonyereza okw’enjawulo mu nsonga y’okuyita abakungu bano abayeekera bo kyebeegaana.

Photo: www.monitor.co.ug

[fbcomments data-width="100%"]